Psalms 57

Ya Mukulu wa Bayimbi. Ku ddoboozi, “Tozikiriza.” Zabbuli ya Dawudi bwe yadduka Sawulo, n’alaga mu mpuku.

1 aOnsaasire, Ayi Katonda, onsaasire,
kubanga neesiga ggwe.
Nzija kwekweka mu kisiikirize ky’ebiwaawaatiro byo
okutuusa okuzikirira bwe kulikoma.

2 bNkoowoola Katonda Ali Waggulu Ennyo,
Katonda atuukiriza bye yantegekera.
3 cAlisinzira mu ggulu n’andokola,
n’amponya abo abampalana.
Katonda anandaganga obwesigwa bwe n’okwagala kwe okutaggwaawo.

4 dMbeera wakati mu mpologoma,
nsula mu bisolo ebirya abaana b’abantu.
Amannyo g’abalabe bange gali ng’amafumu n’obusaale.
Ennimi zaabwe ziri ng’ebitala ebyogi.

5 eAyi Katonda, ogulumizibwenga okusinga eggulu;
n’ekitiibwa kyo kibune ensi yonna.

6 fBaatega ekitimba mu kkubo lyange,
ne ntya nnyo;
ne basimamu obunnya,
ate bo bennyini ne babugwamu.

7 gOmutima gwange munywevu, Ayi Katonda,
omutima gwange munywevu.
Nnaakutenderezanga n’ennyimba.
8 hZuukuka, ggwe omwoyo gwange!
Zuukuka ggwe ennanga ey’enkoba, naawe entongooli,
ndyoke nnyimbe okukeesa obudde.

9Ayi Mukama, ndikwebaza mu mawanga;
ndiyimba nga nkutendereza mu bantu.
10 iKubanga okwagala kwo kungi nnyo, kutuuka ne ku ggulu;
n’obwesigwa bwo butuuka ku bire.

11 jOgulumizibwenga, Ayi Katonda, okusinga eggulu;
n’ekitiibwa kyo kibune ensi yonna.
Copyright information for LugEEEE